KAZOOBA (LWAKUSOOKA) 26 KASAMBULA 2021

KAZOOBA (LWAKUSOOKA) 26 KASAMBULA 2021

WIIKI EY’EKKUMI N’OMUSANVU MU BUDDE OBW’OMWAKA B

YOWAKIMU OMUTUUKIRIVU NE ANNA OMUTUUKIRIVU (Bazadde ba Maria Omubeererevu)

Joje Pureka (George Preca) Omutuukirivu, Musaserdooti

Erasito Omutuukirivu, Mujulizi

Beninyo (Benigno) owe Malcestine Omutuukirivu, Munnamalungu

ESSOMO ERISOOKA

Abantu bano baayonoonye nnyo: Beekoledde Katonda waabwe wa zawabu.

Bye tusoma mu kitabo ky’Amalamaga 32: 15-24. 30-34

Mu nnaku ezo, Musa n’akwata ekkubo lye okuddayo n’aserengeta olusozi ng’alina n’ebipande bibiri eby’endagaano mu ngalo ze, ebipande ebiwandiikiddwa ku njuyi zombi, nga biwandiikiddwaako mu maaso n’emabega. Ebipande bino gwali mulimo gwa Katonda  n’okubiwandiikako kwali kuwandiika kwa Katonda okwoleddwa ku bipande. Yozuwa n’awulira oluyogaano lw’abantu nga baleekaana, n’agamba Musa nti: Wulira enduulu! Eriyo olutalo mu lusiisira. Musa n’amuddamu nti: Lino eddoboozi si kuwera kwa kugenda ku lutalo, si kuleekana okw’abadduka wabula abo bayimba buyimbi.
Musa bwe yasemberera olusiisira n’alaba akayana n’ebibiina ebizina, bye yali akutte, n’abimenyera wansi w’olusozi. N’akwata akayana ke baali bakoze n’akookya n’akabetenta ne kafuuka nfuufu n’agissa mu mazzi, n’aganywesa abaana ba Yisirayeli. N’agamba Aaroni nti: Abantu bano bakukoze ki, okubaleteera ekibi ekinene ekyenkana wano? Aaroni n’addamu nti: Tosunguwala ssebo. Naawe omanyi abantu bano we beewunzikira ku bubi. Bangamba nti: Tukolere lubaale atukulembere, ono Musa omusajja eyatuggya mu Misiri, tetumanyi ky’abadde. Ne bagamba nti: Ani alina zawabu? Ne bamuggyayo ne bamundeetera, ne mmusuula muliro ne muvaamu akayana akano.
Ku lunaku oluddirira, Musa n’agamba abantu nti: Mukoze ekibi kinene. Naye kaakano nja, kwambuka eri Omukama, mpozzi nnyinza okuddaabiriza ku lw’ekibi kyammwe! Musa n’addayo eri Omukama. N’aleekaana nti: Ssebo, abantu bano bakoze ekibi ekinene, beekoledde lubaale owa zawabu. Naye no basonyiwe ekibi kyabwe kino! Oba si bwe guli, kale nsangula mu kitabo kyo kye wawandiika. Omukama n’addamu Musa nti: Omuntu eyayonoona gyendi gwe naasangula mu kitabo kyange. Ggwe genda okulembere abantu, obatwale mu kifo kye naakubuulira, Malayika wange anaakukulembera, naye ku lunaku lw’okulambula kwange, ndibabonereza olw’ekibi kyabwe!
 
Ebyo Omukama yabyogera.
 
OLUYIMBA OLW’OKWEBUULIRIRA. Zab. 106: 19-23.
 
Ekiddibwamu: Mugulumize Omukama, kubanga mulungi.
 
Baakola akayana ku Worebu ne basinza ekitalimu kye bafukuta mu zawabu. Ekitiibwa ekyandibadde ekikyo ne bakizza ku kifaananyi ky’ente erya omuddo.

Ekidd: Mugulumize Omukama, kubanga mulungi.

Beerabira Katonda eyabalokola, eyakola ebikuuno mu Misiri. Ebyewuunyisa mu nsi ya Kamu, ebisamaaliriza ku nnyanja emmyufu.

Ekidd: Mugulumize Omukama, kubanga mulungi.

Yalowoozaako ku kubazikiriza, taba Musa mulonde we. Yabawolereza gy’ali, n’amukkakkanya obusungu, aleme kubazikiriza.

Ekidd: Mugulumize Omukama, kubanga mulungi.

OKWANIRIZA EVANJIRI

Ekidd: Alleluya, Alleluya.
Mbayita mikwano gyange, kubanga byonna bye nnawulira eri Kitange nnabibamanyisa.
Ekidd: Alleluya, Alleluya.
 
EVANJIRI

Empeke ya kaladali efuuka muti n’ennyonnyi zisula mu matabi gaagwo.

Ebigambo by’Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Matayo 13: 31-35

Mu budde buli, Yezu yabaleetera n’olugero olulala, n’agamba nti: Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanaanyirizibwa ng’empeke ya kaladali, omuntu gye yaddira n’agisiga mu nnimiro ye. Weewaawo, ntono okusinga ensigo zonna; naye bwekula eba mpanvu okusinga ebiddo byonna, efuuka muti, n’ennyonnyi eza waggulu ne zijja ne zisula mu matabi gaagwo.
N’abaleetera n’olugero olulala nti: Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’ekizimbulukusa omukazi kye yaddira n’akitabula mu bibbo by’obutta bisatu, okutuuka byonna lwe byazimbulukuka. Ebyo byonna abantu Yezu yabibabuulira mu ngero; tiyayogeranga nabo wabula mu ngero: Omulanzi kye yayogera, ne kituukirira: yagamba nti: Nnaayogeranga mu ngero ne mmanyisa ebitukuvu ebikolebwa ebitaayatulwa okuva ku matandika g’ensi.
 
Ebyo Omukama yabyogera.
 
OKWEBUULIRIRA KU KIGAMBO KYA KATONDA.
 
Omulamwa: Ekigambo kya Katonda kikyusa obulamu bwaffe ne buleeta ebibala.  
 
Yezu akozesa eby’okulabirako ebikulu bibiri: empeke ya kaladali n’ekizimbulukusa ekitabulwa mu butta okutuyigiriza ku bwakabaka  bwa Katonda nga bwe butandikira mu mitima gy’abantu abo abaaniriza ekigambo kya Katonda mu bukakkamu ate ne kyeyoleka olw’engeri gye bakozesamu ebitone Mwoyo Mutuukirivu bye yatugabira.
 
Ekyetaagisa bulijjo kiri kimu, kwe kukkiriza Katonda asige ensigo y’ekigambo kye mu mitima gyaffe, egende ng’ekula mpola mpola okutuusa lwevaamu ebibala.
 
Amawulire agasanyusa gasaanye gasensere obulamu bwaffe bwonna,  gabuzimbulukuse bugase ensi yonna, gano g’emaanyi g’ekigambo kya Katonda,  agafaananyirizibwa ekizimbulukusa ekitabulwa mu bibbo by’obulamu. Kino kitwala obudde, ekigambo kisobole okusensera obulungi obulamu bwaffe bwonna.
 
Nga twebuulirira ku bulamu bwa Yowakimu ne Anna; abo abasingira Katonda omwana waabwe; n’Omukama kwe kubasasula ng’abafuula ba jjajja b’Omulokozi. Ogwabwe ogw’okugaziya obwakabaka bwa Katonda baagukola mu bwetowaze n’obukakkamu, nga basinga omwana waabwe eri Katonda. Baali tibasuubira nti oyo Maria gwe bazaala, ne basingira Katonda, ye wuuyo alizaala Omununuzi.
 
Ayi Yezu mpa enneema entangaaze okujjukira nti obwakabaka bwa Katonda buli mu nze, era bugenda bukula mu kimpowooze, okutuuka lwe bulabikira mu ebyo bye nkola.

TWAGALIZA AB’OLUGANDA AWAMU NAB’EMIKWANO BONNA ABAYITIBWA ANNA, OBA YOWAKIMU OLUNAKU LW’ABAWOLEREZA BABWE OLULUNGI

BANNANGE EMBEERA GYETULIMU YETAAGA KWEGAYIRIRA AWO NNO NKUSABA OFUNEYO AKADDE OSOME SSAPULE NGATWEGAYIRIRA NNYAFFE BIKIRA MARIA ATUSABIRE ERI YEZU ATUTAASE ENDWADDE YA COVID19 NA BYONNA BYETULETEDDE OMULI OKUFA, OBWAVU, OKUTYA N’EBIRALA BINGI.

PADRE PIO OMUTUUKIRIVU TUSABIRE ERI KATONDA ATUWONYE EKIRWADDE KYA CORONAVIRUS EKITADDE ENSI KU BUNKENKE TUDDEMU OKUKUNGAANA OKUWEREZA EKITAMBIRO EKITUKUVU EKYA MISSA KUBANGA WAGAMBA WEKITALI ENSI EBEERA MU NZIKIZA DDALA NGA BWEGULI LEERO

Faaza Augustine